donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Bannamakulubita baleese amakula, omulangira Muteesa ayogerera ku Ttaka ly’Obwakabaka

Bannamakulubita baleese amakula, omulangira Muteesa ayogerera ku Ttaka ly’Obwakabaka
Omulangira Felix Muteesa nga ayogerako eri Abaami ba Kabaka e Mmengo

Omulangira Felix Muteesa nga ayogerako eri Abaami ba Kabaka e Mmengo

Abantu ba Kabaka okuva mu Ggombolola Mutuba IV Makulubita bakiise Embuga e Mmengo nga baleese amakula ag’omutima gwa buwagizi eri Obwakabaka.

Omulangira Felix Muteesa, eyatikkudde amakula gano, agambye nti enkaayana ku ttaka ly’Obwakabaka zivudde ku bulagajjavu bwa baami abamu abaagala okufuna ensimbi ez’amangu ne balemererwa okutumbula enkulaakulana.

Yalabudde ku ngeri gye beekobaana n’abanyazi okulitwala mu bukyamu, era n’akuutira Abaami ba Kabaka okukulembeza okukuuma ettaka ly’Obwakabaka.

Omulangira Muteesa era asabye abazadde okussa essira ku kusomesa abaana baabwe, n’okubayigiriza eby’emikono nga ekimu ku by’enkulaakulana ebisobola okutumbula Buganda.

Omulangira Felix Muteesa (ku kkono) nga akwasibwa Amakula okuva mu Baami ba Kabaka.

Omulangira Felix Muteesa (ku kkono) nga akwasibwa Amakula okuva mu Baami ba Kabaka.

Moses Luutu, Katikkiro we Byalo bya Kabaka, yeebazizza Bulemeezi olw’obuwagizi bwabwe eri Obwakabaka.

Omwami Goriath Lumbuye, akulira Ggombolola Mutuba IV Makulubita, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okuzimba eddwaliro mu kitundu kyabwe ekibayambye okwekebeza endwadde, naddala mukenenya.

Ebireeteddwa kuliko amatooke, embuzi, emmere enganda, ebikajjo n’ebirala, nga byonna biyambako mu kuddukanya enteekateeka eziri mu mbiri za Kabaka.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK