Bammemba ba PLU mu kifaananyi eky'awamu ne Oweek Anthony Wamala
Bannakisinde kya PLU bakiise Embuga ne baleeta ebirabo eri Ssaabasajja Kabaka mu kujaguza Amatikkira ge ag'omulundi ogwa 31.
Minisita Anthony Wamala ow'Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n'Ebyokwerinda era Ssentebe w'enteekateeka z'Amatikkira omwaka guno y'abaanirizza ku lwa Katikkiro.
Bamukwasiza ente 10 ng'ebirabo eri Kabaka ku Matikkira ge ag'olunaku lw'enkya.
Bano bakulemeddwamu Micheal Toyota Kaguta, Minisita Balaam Barugahare, Hon. Daudi Kabanda n'abalala.
Amakula gente gebalese
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yatikkirwa nga 31 July,1993 e Naggalabi Buddo, n’afuuka Kabaka wa Buganda 36, era aleese enkulaakulana nnyingi erabwako.