
Bannabuddu okuva mu magombolola agenjawulo nga bali ku mukolo gw’okutikkula oluwalo
Bannabuddu okuva mu ggombolola Mut. XV Kirumba, Mut. XXII Kitanda ne Mut. XI Lwabenge, wamu ne Bannabulemeezi okuva Mut. III Nnyimba, bakiise Embuga nga baleese oluwalo olw’obuwagizi eri Obwakabaka.
Minisita w’Obwakabaka Israel Kazibwe Kitooke, ku lwa Katikkiro, y’atikkudde oluwalo luno ng’ali wamu ne Minisita Joseph Kawuki ow’eby’Enteekateeka za Gavumenti ez’Ebitundu.
Oluwalo olutuuse lwasobodde okutuuka ku bukadde bwa shilingi 26, nga Bannabuddu ne Bannabulemeezi beeyongedde okulaga omutima ogw’obuwagizi eri Obwakabaka

Owek. Kazibwe Kitooke ng’akwasa satifikati eya bannabuddu olw’obuwagizi bwabwe
Bw’abadde ayogera ku mukolo guno, Minisita Kazibwe akubirizza abantu ba Buganda okujjumbira enteekateeka zonna ez’amazaalibwa ga Kabaka, era abasabye okwewala ekirwadde kya mukenenya.
Hajj. Ssesaazi Siragye, Omumyuka Owookubiri owa Pookino, y’akulembeddemu abakiise Embuga, nga bali wamu ne Minisita Aisha Ssekindi, Minisita w’Amazzi mu Gavumenti eyawakati, ne Hon. Kirabo Agnes akiikirira abavubuka mu Buganda.