Baminisita ba Kabaka, Supreme Mufti boolekedde America okwetaba mu lukungaana lwa Buganda Bumu mu kibuga Seattle.
Supreme Mufti, Sheikh Muhammad Shaban Galabuzi, asinzidde Ku kisaawe ky'ennyonyi, e Ntebbe, n’ategeeza nti ensonga y'okunyweza omukwano, okumanyagana, obumu, ze zimu kw'ezo ezibasikirizza okugenda okusisinkana bannayuganda abali eyo.
Oweek Mariam Nkalubo Mayanja, Minisita w'Ettaka Obulimi n'Obutondebwensi, agambye nti baagala kuyita mu lukungaana luno okufuna bannamikago abayinza okukwasizaako Obwakabaka okumalawo ebbula ly'amazzi mu ggwanga.
Mu basitudde olwa leero kuliko, Oweek Noah, Kiyimba, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, Supreme Mufti, n'abakungu abalala.