
Owek. Serwanga Ssalongo nga ayogerako eri abadukanya omupiira
Owek. Serwanga asuubizza nti Minisitule gy’akulembera n’Obwakabaka okutwaliza awamu, baakuwagira omuntu ne bitongole eby’enjawulo ebigatta ettofaali ku mpaka zino okulaba zitambula zigenda mu maaso, kubanga abantu bangi okuyita mu mpaka zino bakuza ebitone byabwe, bafuna emirimu, essanyu n’obumu obweyolekera mu mpaka zino.
Ssentebe w’Olukiiko Oluteekateeka Empaka z’Omupiira gw’Amasaza, Hajj Sulaiman Ssejjengo, naye akkaatiriza nti empaka z’Amasaza kati zoolekera mutendera gwa kikugu era baagala buli muntu atandike okweteekateeka okulaba nti tasigalira mabega wabula okwongera obukugu bwe okusobola okugatta ku mpaka zino.
“Mu 2004, empaka zino zaatandika nga baddiifiri bokka betulinamu ng’abantu abalina obukugu. Kyokka emyaka bwe giyise gitambula, twongedde okufuna abakugu mu bitongole eby’enjawulo—ng’abatendesi, abasawo, abakuumi, abakulembeze ba ttiimu n’abalala. Kati ekiseera kijja buli omu mu buvunanyizibwa bwe okubeera n’obukugu obwetaagisa mu buvunanyizibwa obwo,” Ssejjengo annyonyodde.

Owek. Serwanga Ssalongo ng’ali n’abaadukanya omupiira n’abamu ku bazannyi
Bino byonna bijjidde mu kiseera ng’empaka zino ez’omulundi ogwa 21 zaakazanyibwako omupiira gumu eri buli ssaza. Kyokka bwe zaali zitongozebwa, Katikkiro yategeeza Obuganda nti omwaka ogujja ttiimu z’Amasaza zonna zaakuwandiisibwa nga kiraabu, olwo zitambuze emirimu gyazo mu ngeri ey’ekikugu.
Emisomo gino ena (4) gibaddemu abasomesa abakugu ab’enjawulo mu njuyi zonna—mu baddiifiri, mu bannamawulire, mu basawo ne mu bo by’okwerinda.