
Owek. Bwanika ng'asaba abazadde okukulemberamu olutalo lw’okuzza empisa mu baana
Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika, akubirizza abazadde okubeera abakulembeze mu kutereeza empisa n'obugunjufu mu baana. Agamba nti ensi eyimariiddewo n'okwefuga ku mpisa ez'obutebenkevu ezitaandikira mu maka, kubanga ge musingi gw’empisa ennungi.
Owek. Bwanika yawadde obubaka buno ku ssomero Stena Hill Secondary School e Lukuli, Nanganda, abayizi we baalagidde ebitone byabwe wansi w'omulamwa "Obuwangwa bwaffe, bwe busika bwaffe."
Yagumizza abazadde nti be balina omugugu omukulu ku baana era n’ababuuza ekituufu eky’omu maaso ky'ejja kubaawo singa abazadde tebanyweredde ku mulamwa gw’okulera abaana mu mpisa ennungi.
Wadde nga amasomero galina obuvunaanyizibwa mu kugunjula abaana, Owek. Bwanika yategeezezza nti abazadde be basinga obuvunaanyizibwa kubanga abaana bamala ekiseera kinene mu maka. Yennyamidde olw'emize egyeyongedde mu bavubuka omuli okukozesa ebiragalalagala, obubbi, obuyaaye n’ebikolwa ebitali bya kisa, n’asaba abazadde, abasomesa n’abakulu abalala okukwatagana okutereeza empisa za baana.

Abayizi nga balaga ebitone byabwe ku mukolo gwa MDD ku ssomero Stena Hill Secondary
“Okwetereza empisa ssi kya Buganda yokka wabula kya Uganda yonna n’ensi yonna okutwaliza awamu,” Owek. Bwanika bwe yagambye.
Nga Ssentebe w'Olukiiko lw’abatandisi b’amasomero ga Stena, Bwanika yagamba nti baalonze omulamwa guno okusobola okuzuukusa abazadde n’okutandikirawo abaana engeri ennungi ey'okweyisa.
Yasinzidde ku bujulizi bw'okulaba nti amasomero ga Stena gagunjula abaana mu by'amasomo n'okukulaakulanya ebitone byabwe okubaako enkolagana ey’amaanyi mu kujjamu abantu ab’omugaso mu ggwanga.
Omugenyi omukulu ku mukolo guno, Omw. Stephen Kalule, akulira ebyenjigiriza mu ggombolola ya Makindye, yasabye abazadde okuyamba abaana okukulaakulanya ebitone byabwe, ng’agamba nti omulembe guno gwongera okulaga nti talanta zivaamu ssente, ekitiibwa, n’okuba omuntu omugaso.

Ente eyawaabibwa abaawangudde mu mpaka z'okulaga ebitone ku ssomero Stena Hill Secondary
Yagambye nti okuzza empisa mu baana kyalina okutandikira ku batono nga kikolebwa abazadde, abasomesa n’abakulu abalala abalina obuvunaanyizibwa ku baana, babayambe okukuza abantu ab’amagezi, ab’omugaso era n’ab’ensonga.
Ku mukolo guno, abayizi ba Siniya mukaaga (S.6) baakwasiddwa ebivudde mu bigezo byabwe, era bonna 27 baafunye obubonero obubatwala ku yunivasite. Ate mu mpaka z’okulaga ebitone, ennyumba ya Africa yawangudde oluvannyuma lw’okuwangula Europe, Asia, ne America. Abawanguzi baafunye ekikopo n’esseddume y’ente.