Prof. Vincent Kakembo ng'atuuzibwa mu butongole nga Amyuka Cansala wa Muteesa I Royal University, ku mukolo ogwakoleddwa Chancellor Julia Ssebutinde, mu mukolo gw’amatikkira ag’omulundi ogw'ekkumi n'ebiri
Amyuka Cansala wa Muteesa I Royal University, Prof. Vincent Kakembo, atuuziddwa mu butongole okufuuka Vice Chancellor wa Ssettendekero ono, era naweebwa ekisanja ky’emyaka etaano. Omukolo gw’okutuuza Prof. Kakembo gukoleddwa ku kitebe ky’ettendekero e Kirumba, Buddu, nga gwakulembeddwa Cansala wa Ssettendekero ono, Omulamuzi wa Kkooti y’Ensi yonna, Julia Ssebutinde.
Bw’abadde ayogerera ku mukolo guno, Katikkiro Charles Peter Mayiga, ayozayozezza Prof. Kakembo n’agamba nti aleese essuubi n’enkyukakyuka ezikola ku Muteesa I Royal University.
Owek. Mayiga agamba nti Prof. Kakembo alina obukugu era azze alaga nti alina ebisaanyizo okutwala ssettendekero ono ku mutindo ogw’enjawulo. Yasabye abazadde okwongera okukkiriza mu ssettendekero ono nga baleeta abaana baabwe okwongera okukuguka.
Abatikkiddwa ku Muteesa I Royal University nga bafuna satifiketi zaabwe ku mukolo gw’amatikkira ag’omulundi ogw’ekkumi n’ebiri
Ku mukolo ogwo, abayizi 716 batikkiddwa ddiguli, dipulooma, ne satifikeeti mu masomo ag’enjawulo ku matikkira ag’omulundi ogw’e 12. Amyuka Cansala Prof. Kakembo yeeyamye okutuukiriza obuvunaanyizibwa obumuweereddwa.
Cansala wa Ssettendekero, Omulamuzi Julia Ssebutinde, ayozayozezza abayizi abaamaliriza emisomo gyabwe era n’abakuutira okukozesa obuyiiya okulwanyisa okusoomoozebwa okw’ebula kw’emirimu. Yabasabye okukuuma ekitiibwa ky’ettendekero nga beewala okwenyigira mu buli bwenguzi obufumbekedde mu bitongole eby’enjawulo era basitukiremu okulwanyisa omuze guno era nasaba bakozesa tekinologiya okutuuka ku ntikko mu mirimu gyabwe.
Omugenyi omukulu ku mukolo, Katikkiro Charles Peter Mayiga, yakakasizza nti Ssetendekero ono emitendera gwaliko gwansi yonna nasaba abamukulira okwolesa obukugu era nategeeza nti Obwakabaka bwakuwagira mu byonna ebikwata ku ntambuza y’emirimu. Ye n’abakulira ettendekero basabye okussa essira ku by’obulimi nga bakozesa tekinologiya ne sayansi.
Katikkiro yasabye abavubuka okukulembeza ebyenjigiriza n’abakubiriza okwetegekera ebiseera eby’omu maaso ebirungi
Katikkiro akunze abavubuka okufaayo mu by’ensoma nga beeteekerateekera obulamu obw’omu maaso kubanga obutasoma buluna bukulu.
Ssentebe w’Olukiiko Olufuzi olw’Ettendekero, Dr. Mary Goretti Nakabugo, alangiridde ebyatuukiddwako mu mwaka gwa 2024. Minisita w’Ebyenjigiriza mu Bwakabaka, Owek. Chotilda Nakate Kikomeko, yategeezezza nti Ssaabasajja Kabaka ayagala nnyo okulaba ng’eby’enjigiriza bitumbulwa okuva ku mutendera egyawansi (Nursery) okutuuka ku ssettendekero. Yanyonyodde abazadde okukozesa emikisa egiri mu ssettendekero ono.
Abayizi abasinze okukuguka mu masomo baweereddwa ebirabo eby’enjawulo, ate n’abasomesa ab’oluganda bassaamu ekitiibwa olw’obuweereza bwabwe obuyinza okukola enjawulo.
Abatikkiddwa nga batudde ku mukolo gw’okutikkirwa ku Muteesa I Royal University ogw’ekkumi n’ebiri, oluvannyuma lw’okubawa diguli, dipulooma, ne satifikeeti
Omukolo guno gwetabiddwaako abantu abakulu n’abenjawulo, okuli Abataka Abakulu abakulembeddwamu Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, Minisita Noah Kiyimba, abakungu, n’abantu b’obuvunaanyizibwa okuva mu bitundu eby’enjawulo.