
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, ng’ayanjulira eggwanga olukiiko olugenda okuteekateeka ebijaguzo by’amazaalibwa ga Kabaka Mutebi II ag’emyaka 70
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, atongozza olukiiko olugenda okuteekateeka ebijaguzo by’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’emyaka 70.
Olukiiko luno lutongolezeddwa ku Lwokutaano mu Bulange, Mmengo, nga Ssentebe waalwo ye Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro. Amyukibwa Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka.
Omuwandiisi w’olukiiko luno ye Omuk. Josephine Nantege, ate Owek. Richard Kabanda naye ye mmemba w’olukiiko luno awamu n’abakiise abalala.

Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, ne Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka amazaalibwa, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, mu Bulange, Mmengo
Ng’ennaku z’omwezi 13 Apuli 2025 zituuka, Buganda ejja kujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II nga aweza emyaka 70.
Ow’omumbuga, Owek. Charles Peter Mayiga, alambuludde obukulu bw’okujaguza amazaalibwa ga Kabaka, ng’ayogera ku busoomoozi obwenjawulo Ssaabasajja Kabaka bye yayiseemu.
Yagambye nti Buganda erina ensonga nnyingi lwaki ejjaguliza Omutanda amazaalibwa ge, kubanga ye muggo gw’obumu mu Buganda.
Mukumaliriza okwogera kwe, Kamalabyonna Mayiga asabye olukiiko oluteekateeka amazaalibwa gano okugoberera ennono ya Buganda mu mikolo egy’enjawulo egikolebwa ku mazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka.
Yebazizza Katonda olw’okwongera okuwangaza Omuteregga, n’asaba abantu ba Kabaka okwongera okwagala n’okutendereza Omukama waffe.

Katikkiro Mayiga (wakati) ne bammemba b’olukiiko oluteekateeka amazaalibwa ga Kabaka. Ku mukono gwe ogwa ddyo waliwo Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, ate Owek. Israel Kazibwe Kitooke ali ku ludda oludirira. Ku mukono gwe ogwa kkono waliwo Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, awamu n’abalala
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Ssentebe w’olukiiko luno, yeeyamye okuteekateeka ebivvulu eby’omutindo era eby’amakulu.
Yasabye abantu ba Kabaka okuwagira enteekateeka zonna ezigenda okukulemberamu emikolo egy’okujaguza amazaalibwa ga Kabaka.
Kinajjukirwa nti Amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’emyaka 70 galina kujagulizibwa nga 13 Apuli 2025.
#KabakaMutebiAt70 | #KabakaWange