Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II
Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yatuuzibwa ku Nnamulondo ya Bajjajjaabe nga 31/07/1993 e Naggalabi Buddo n'atikkirwa okubeera Kabaka wa Buganda owa 36.
Mu mwaka guno lwe giwera emyaka 31 nga Kabaka Mutebi II atudde ku Nnamulondo alamula Obuganda.