Abayizi okuva mu masomero g’essaza ly’e Busiro
Oweek. Noah Kiyimba ku lwa Katikkiro, yatikudde oluwalo luno era yeebaziza nnyo abakulira amasomero agakiise Embuga olw'okuwagira emirimu gy'Obwakabaka naye okusingira ddala okusiga ensigo mu baana abato okwagala Eggwanga lyabwe ate n'okumanya Obuwangwa n'Ennono zaabwe.
Abayizi okuva mu masomero g'essaza ly'e Busiro nga basaba
Ababadde beebaziddwa olw'okwanukula okusaba kwa Beene okw'okusomesa abaana nga kino kiyamba okutangaaza ebiseera byabwe eby'omumaaso, ate bbo abayizi babakuutidde okufaayo ennyo ku bibasomesebwa naddala eby'emikono kubanga bibawa obukugu obw'enjawulo bwe basobola okweyambisa okwetandikirawo emirimu.