
Abamu ku bayizi nga bali mu somero
Amasomero g’Obwakabaka ag’obwannakyewa ag’omutendera gwa nursery gatandise okutendeka abaana abato mu butongole leero.
Pookino Nursery School e Buddu egguddewo n’abayizi 33 ku lunaku olusooka, era bangi bakyeyongera.
Abazadde abaleese abaana baabwe mu masomero gano basanyukidde enteekateeka eno era bategeeza nti ejja kubayamba okusomesa abaana ku bisale ebisaamusaamu bwe gogerageranya ne bye babadde basasula mu masomero amalala.