donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Akulira Rotary international Stephanie Urchick asisinkanye Katikkiro Mayiga, yeeyamye okwongera enkolagana

Akulira Rotary international Stephanie Urchick asisinkanye Katikkiro Mayiga,  yeeyamye okwongera enkolagana
Image

Katikkiro Charles Peter Mayiga (ku ddyo) ng’ali ne Pulezidenti wa Rotary international, Stephanie Urchick mu kukyala kwe e Bulange

Akulira ekitongole ky’Obwannakyewa ekiyitibwa Rotary International, Stephanie Urchick, akyaddeko e Bulange n’asisinkana Katikkiro Charles Peter Mayiga, baminisita, n’abakulembeze ab’enjawulo mu Gavumenti ya Kabaka. Awerekeddwako bannalotale okuva mu bibiina bya Rotary eby’enjawulo.

Mu nsisinkano eno, Katikkiro Mayiga amwanjulidde ebyo obwakabaka bye bukola nga buyita mu mukago gwabwo ne Rotary, omuli, eby'obulamu, ebyenjigiriza, nebyenkulaakulana.

Stephanie Urchick yeebazizza Obwakabaka olw’enkolagana ne Rotary, ng’agamba nti bannakyewa ba Rotary tebakolerera mpeera y’ensimbi wabula baagala kuleeta essanyu mu bantu naddala abeetaaga obuyambi.

Agambye nti enkolagana eno ejja kwongera okukula n’okuleeta enkyukakyuka ennene mu bifo ebitali bimu.

Abazinyi nga baaniriza Stephanie Urchick e Bulange wamu ne Katikkiro Mayiga

Abazinyi nga baaniriza Stephanie Urchick e Bulange wamu ne Katikkiro Mayiga

Kinajjukirwa nti Obwakabaka bwassa omukono ku ndagaano ne Rotary okukuuma obutonde bw’ensi n’okutumbula obulamu bw’abantu.

Bw’abadde ayogera eri bannamawulire, Pulezidenti Urchick agambye nti amaze ebbanga ng’awulira enteekateeka z’Obwakabaka nga kaakiise Embuga enkolagana yaakweyongerera ddala era eveemu ebibala ebinene.

Katikkiro Mayiga yeebazizza bannakyewa ba Rotary olw’okukolagana n’Obwakabaka, ng’agamba nti miramwa gyabwe gikwatagana n’ebyo Ssaabasajja Kabaka bye yassizaawo ng’ebyetaagisa okusitula abantu mu mbeera zaabwe.

Bannakyewa ba Rotary beenyigiddemu emirimu mingi omuli; okuzimba etterekero ly’omusaayi e Nsambya, okuyamba ku baana abatalina buyambi, okugogola enzizi, okubunyisa amazzi amayonjo, n’okutumbula obutonde bw’ensi.

Stephanie Urchick, mu kifaananyi eky’awamu ne Katikkiro, baminisita, n’abakungu ba gavumenti ab’enjawulo, awamu n’abannalotale okuva mu bibiina bya Rotary eby’enjawulo

Stephanie Urchick, mu kifaananyi eky’awamu ne Katikkiro, baminisita, n’abakungu ba gavumenti ab’enjawulo, awamu n’abannalotale okuva mu bibiina bya Rotary eby’enjawulo

Rotary International erina bammemba abasoba mu kakadde kamu n’ekitundu okwetooloola ensi yonna nga bakola obwannakyewa okusitula embeera z’abantu. Ebibiina bya Rotary birina emitwalo egisoba mu 46 era nga birina emirimu egy’enjawulo egy’okutumbula abantu mu nsi yonna.

Ku Lwomukaaga nga January 11, okutambula kw’emirembe ku yunivasite y’e Makerere, okukulemberwa PDG Mike Sebalu, kwakulaga nti Rotary yeewaddeyo eri emirembe n’okutabagana. Akawungeezi, omukolo gwa Rotary Youth Leadership Award (RYLA) ku Kaazi Camping Grounds gugenda kuwa abakulembeze abato amaanyi n’obukugu olw’ebiseera eby’omu maaso ebitangaavu.

Okukyala kwa Pulezidenti Stephanie kusuubirwa okuleka akabonero akatasangulwa ku Disitulikiti za Rotary 9213 ne 9214, okunyweza enkolagana n’okukubiriza omutendera omupya ogwa pulojekiti z’obuweereza. Okugenda kwe ku Ssande nga January 12, kugenda kumaliriza wiiki etajjukirwa ey’okukolagana n’okukola.

Era agenda kukyalira Kenya, Senegal, Tunisia ne Misiri nga tannaddayo mu kibuga Evanston ekya Amerika ku kitebe kya Rotary nga January 27, 2025.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK