Katikkiro (wakati) ng'afuna ekifaananyi kye okuva ewa Susan Nsibirwa, akulira ekitongole ky'amawulire ki Nation Media Group (owookubiri okuva ku kkono), ng'ekirabo
Akulira ekitongole ky'amawulire ki Nation Media Group, Susan Nsibirwa akyaddeko embuga naasisinkana Katikkiro neboogera ku ngeri y'okunywezaamu enkolagana n'Obwakabaka ku nsonga zeby'amawulire.
Awerekeddwako akulira Bboodi yaabwe Samule Ssejjaaka n'abaweereza mu bitongole byabwe ab’enjawulo.
Mu kwogerako gyebali, Katikkiro alaze obukulu bw'amawulire g'agambye nti gakola kinene nnyo okukulaakulanya ensi nga galaga obukulu obuli mu nteekateeka okugeza okulima emmwanyi wamu n'okubuulira abantu emirimu nga bwegitambula mu bitongole bya Gavumenti omuli, essiga edamuzi, Paalamenti n'essiga effuzi.
Abasabye basoosowaze obwakabaka olwo lwebajja okwongera okuganja kubanga business monitor ze funa zisinga kuva mu Buganda, n'abasomi baamawulire basinga wano mu Buganda.
Aba Nation media group nga batuusa obubaka bwabwe eri Katikkiro
Abakuutidde okunyweza obwetengereze mu mpeereza yaabwe awatali kyekubiira era bawe buli muntu omwagaanya atuuse obubaka bwe.
Minisita w'Amawulire Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, abasabye bongere okusoosowaza amawulire g'obwakabaka kubanga abasomi basinga wano.
Ssenkulu wa Nation Media group, Susan Nsibirwa, agamba nti bazze n'ekigendererwa ekyokweyanjula embuga ba bamanye era basseewo enkolagana ennywevu kibanguyize mu buweereza bwabwe.