
Abayizi ba Nkobazambogo nga bakuŋŋaanye ku Bulange, Mmengo, okwetaba mu kalulu ka bukulembeze
Abayizi ba Nkobazambogo bakuŋŋaanye ku Bulange, Mmengo, mu Akalibakendo okulonda abakulembeze abaggya abagenda okukulembera ekibiina kino mu kisanja kya mwaka gumu.
Abayizi 87 beebavuganyizza ku bifo 15, nga kuliko abawala 38 n'abalenzi 49 okuva mu masomero ag’enjawulo. Enteekateeka eno egendererwamu okuzimba abakulembeze, okunyweza empisa, okukuumira ddala obuwangwa n'ennono, era n'okubalaga obukulu bw'okuwaayo obukulembeze mu mirembe eri abalala.