Bakulembeddwa Mmeeya, Zacchy Mbeeraze Mawula, ne basisinkana Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Oweek. Prof. Twaha Kaawaase. Bamulaze enteekateeka yaabwe, n’okwogerezeganya ku ngeri gye banaakwataganamu n’Obwakabaka ku nguudo eziyita mu bifo eby’ennono okuli, ennyanja ya Kabaka n’Amasiro g’e Kasubi.
Banjudde ppulojekiti ya kilomita 70, okugenda okussibwa awayita abeebigere, obugaali, abaliko obulemu; kabuyonjo 30, okuzisimbako emiti, awamu n’okulongoosa enguudo ezigenda mu masinzizo n’amalwaliro.
Oweek Prof. Twaha K. Kaawaase, abeebazizza olw’enteekateeka eno, n’asiima n’abo abawaddeyo ettaka okuyisaako enguudo. Asabye abakulembeze bano okunyweza empuliziganya n’Obwakabaka nga batwala enkulaakulana mu bifo eby’ennono. N'awakanya n'eky’okuwamba obuwambi ettaka ly’abantu olw’enkulaakulana.
Akuutidde abantu okukozesa obulungi obupande, n’obubonero bw'okunguudo okukendeeza ku bubenje.

Mmeeya, Zacchy Mbeeraze Mawula ku kkono nga aline omumyuka Asooka owa Katikkiro, Oweek. Prof. Twaha Kaawaase.
