Ab’omutima Omuyanja abakulembeddwa Omukulu w’Ekika, Omutaka Namugera Kakeeto, basisinkanye Katikkiro Charles Peter Mayiga, ne bamusiima olw’okuweereza obulungi Obwakabaka mu myaka 10, ng’akutte Ddamula. Bamwanjulidde n’enteekateeka z’okukulaakulanya ekika kyabwe.
Katikkiro abaanirizza, n’abasaba okwongera okumuwagira. Abakuutidde okunyweza obuwangwa n’ennono zaabwe wakati mu kwettanira tekinologiya ow’omulembe, bawagire ensonga z’ekika ez’enjawulo, n’okukuuma ennono ey’okutuuma abaana amannya g’ekika.