Wano nga okusinza kugenda mu maaso Abalangira n’Abambejja ab’enjawulo wansi w’enzikiriza y’Obuwangwa n’Ennono bakuŋŋaanidde ku mbuga e Jinja Mawuuno n’Embuga y’Omulongo Kato Mayanja e Sseguku mu Kyaddondo okwebaza Omutonzi olw’ebirungi bye batuuseeko mu mwaka gwa 2025. Akulembeddemu okusaba kuno ye Jjajja w’Olulyo Olulangira era Ssentebe w’Olukiiko lw’Obuwangwa n’Ennono mu Bwakabaka, Omulangira Ssaalongo Edirisa Luwangula Basajjansolo, agamba nti bazze okujaguza mu bifo bino ng’akabonero akalaga nti Obwakabaka bulina enteekateeka ekulaakulanya embuga zino zonna okuzituusa ku mutindo ogutuukiridde. Ssaalongo Luwangula avumiridde abo bonna abavumirira n’okuvvoola obuwangwa n’ennono yaabwe, n’agamba nti tebamanyi kye bakola wabula basaanidde okukkiriza bayigirizibwe obuvo n’obuwangwa bwabwe, kubanga kya nnaku okuba nga tebamanyi wa gye bava. Omulangira Luwangula agamba nti kikulu nnyo okwebaza Omutonzi n’okusaba ewa abalongo Wasswa ne Kato Mayanja e Sseguku, olw’enzikiriza nti be basumulula n’okuta ebyo byonna ebyagaana; kyeyava asaba embuga zonna okuwongayo okuddaabirizibwa, naddala mu kaweefube Obwakabaka gwe buliko ow’okuzzidabiriza. Okusaba kuno kwetabiddwamu Muky. Gaggawala owa Biggy Herbal Clinic e Kajjansi, Omuyimbi w’ennyimba z’ennono Mw. Kiggundu Basajjabaka, Jjajja Budhagaali okuva e Busoga, awamu n’Abalangira n’Abambejja ab’enjawulo okuva mu mbuga ez’enjawulo.