donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Abeddira Eŋŋonge baajaguzza obuwanguzi bwe baatuukako n'okwanjulira Jjajjaabwe engabo gye baawangula.

Abeddira Eŋŋonge baajaguzza obuwanguzi bwe baatuukako n'okwanjulira Jjajjaabwe engabo gye baawangula.
Image

Oweek. Wamala nga akwasa omutaka kisolo engabo gye bawangula

Omutaka Kisolo Kaboggoza Mathias Muwanga, Omukulu w'ekika kye Ŋŋonge, yeebazizza nnyo bazzukulu be olw'obumu n'obumalirivu bwe baayolesa obwabasobozesa okuwangula engabo y'omupiira gw'ebika 2023.

Omutaka Kisolo okwogera bino yabadde ku mukolo ogwategekebbwa ku Butaka bw'ekika e Bweza, Busujju, abeddira Eŋŋonge kwe baajagulizza obuwanguzi bwe baatuukako n'okwanjulira Jjajjaabwe engabo gye baawangula.

Minisita w'Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n'Ebyokwerinda, Oweek. Anthony Wamala, nga naye muzzukulu wa Kisolo, yatenderezza nnyo obukugu n'obunyiikivu obwayolesebwa era n'akuutira banne okukola ekisoboka okulaba ng'engabo bagyeddiza omwaka ogujja.

Oweek. Wamala, era yakubirizza bazzukulu ba Kisolo okunyweza obumu mu kika, okufuba okusomesa abaana n'okutandikawo emirimu egy'enkulaakulana egisitula ekika n'embeera z'abazzukulu bonna.

Omukolo gwetabiddwako Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka, Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, Abataka Abakulu b'Obusolya, Katikkiro w'ekika kye Ŋŋonge Omw. Ediriisa Kitandwe n'Olukiiko lwakulembera, Bakatikkiro b'ebika n'abakungu abalala.

E Ŋŋonge yawangula Embogo ggoolo 2:0, era nga guno gwe mulundi gwabwe ogwasooka okuwangula engabo y'ebika.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK