Nga bakomekkereza obugenyi Ssaabasajja Kabaka bwe yabatumako mu Lubiri lwa Emir w'e Kano, Alhajj Aminu Ado Bayero, Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Oweek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, awamu n'Oweek. Mariam Nkalubo Mayanja, mu kiro ekikeesezza olwa leero, balagidwa sineema (firimu) ezooleka obyobuwangwa n'ennono z'ekitundu ekyo, nga ogumu ku mikolo egifundikira ebikujjuko bya Eid Adhu Durbar 2023.
Sineema zino ziraga olugendo lw'obuwangwa n'ennono, awamu n'ebyobulambuzi ebya buli ssaza eriri mu 'Kano Emirates.
Oweek. Kaawaase, asiimye nnyo enkola eno ey'okweyambisa tekinologiya w'okukwata n'okuzannya entambi za firimu mu kukuuma n'okubunyisa ebyobuwangwa, empisa n'ennono, ne basobola okubimanyisa, n'okubyagazisa abaana abato n'abavubuka.
Akiggumizza nti obuwangwa, ennono, empisa, obuntubulamu n'obulambolombo, gy'emirandira egiwanirira eby'enkulaakulana, nga n'olwekyo ensi ezinaabigayaalira zoolekedde okusaanawo.