
Oweek Joseph Kawuki nga akwasa Omuk. Sekisonge Godfrey emijoozi gye banadukiramu
Ab'e Bungereza beesunga misinde gy'amazaalibwa ga Kabaka. Era tebalutumidwamwana naye betukidde nebagula emijoozi e Bulange ku kitebe ekikulu eky’obwakabaka.
Oweek. Godfrey Ssekisonge Omumyuka w'Omwami wa Kabaka mu Ssaza lya Bungereza ne Ireland azze Embuga okugula emijoozi olwaleero egimukwasaiddwa Oweek. Joseph Kawuki.

Omuk. Godfrey Sekisonge ku kono nadirirwa oweek. Joseph Kawuki wakati nga bakute emijoozi
Oweek. Kawuki akoowodde abantu ba Kabaka mu Masaza gonna wano mu Buganda n'ebweru okugula emijoozi nga bukyaali basobole okwetaba mu misinde n'okuwagira enteekateeka ya Kabaka ey'okulwanyisa obulwadde bwa Mukenenya.
Oweek. Ssekisonge agamba nti nabo beeteeseteese okudduka nga 7/04/2024 era bajja kuddukira mu North London, bwatyo n'asaba abantu ba Ssaabasajja mu Ssaza gonna ebweru okugula emijoozi.