donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Abazadde naddala abasajja, muweeyo obudde eri abaana bammwe - temubeera ku Arsenal yokka!

Abazadde naddala abasajja, muweeyo obudde eri abaana bammwe - temubeera ku Arsenal yokka!

Abazadde, naddala ba Taata, nsanyuse nnyo okubalaba a leero. Essanyu lyange lyeyongedde nnyo kubanga mulaze nti mutegedde omugaso gw'okubeerawo awamu n’abaana bammwe mu mirimu egibaganyula.

Naye kinnuma nti abataata bangi batera okulagajjalira abaana baabwe, nga beekwasa ensonga ng’okulaba emipiira gya Arsenal oba emirimu emirala ng’okumala ekiseera nga balya ennyama y’embizzi ku Lwomukaaga oba okunywa omwenge.

Ekyo kitera kuleka abaana nga tebalina buwagizi bwabwe, ekibaviirako okufuna obuzibu mu nsi.

Leero, ebyo bye mukoze biraga nti muli ba wamu na baana bammwe. Mwebale kubelawo mu bungi n’okulaga nti abaana bammwe bamugaso nnyo mu bulamu bwammwe.

Image

Nnaabagereka Sylvia Nagginda ne Katikkiro Mayiga wamu n’abetabye mu Ekisaakate nga basala keeki mu mukolo ogw’ekitiibwa

Nkubiriza nnyo okwongera okubeerawo awamu nabo, kubanga obuweereza bwammwe buyamba ennyo ku kyokuzimba musingi omunywevu ogw'okwagala .

Mwebale nnyo okulaga obwagazi n’okuba wano mu bungi ddala.

Bino bye bigambo Katikkiro Mayiga bye yawa abazadde okukola mu kiseera nga Ekisaakate kiggalwawo.

Katikkiro Mayiga era yakubirizza abantu okukozesa tekinologiya okutumbula obuwangwa, kyokka n’akubiriza abazadde okulaba ng’abaana tebamala biseera bisusse ku masimu.

Nnaabagereka Sylvia Nagginda naye yalabudde abazadde n’abaana ku kabi akali mu kweyisa mu ngeri etafaayo n’okukozesa ebiragalalagala.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK