
Owek. Israel Kazibwe Kitooke ng’ayogerera ku mukolo ogw’okwolesa obuwangwa ku ssomero lya Muzza High School e Kabembe
“Ennaku zino ogenda n’owulira omuzadde nga atuumye omwana erinnya ly’omusambi w’omupiira mu nsi z’Abazungu, ne wewewunya ekiddirira singa omuzannyo oyo awummula.”
Bino byogeddwa Minisita w’Amawulire, Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, bw’abadde yeetabye ku mpaka z’okwolesa obuwangwa n’ennono z’amawanga ag’enjawulo ku ssomero lya Muzza High School e Kabembe – Mukono.
Yasabye abazadde bafube okwagazisa abaana baabwe ennono n’ensibuko yaabwe, bave mu bikopperere eby’Abazungu.
Owek. Kazibwe era akubirizza abantu ba Uganda okukomya okwesosola mu mawanga, wabula bakulembere okwagalana n’okussa ekitiibwa mu buwangwa bw’abalala.

Abayizi ba Muzza High School nga bambadde ebyambalo by’obuwangwa ku mukolo gw’okwolesa ennono
Omukulu w’essomero lino, Muky. Annet Harriet Tusiime, yagambye nti kikulu nnyo okwolesa obuwangwa bwaffe, kubanga obuwangwa bugagga, era buyigiriza empisa n’enneeyisa. Yagasseeko nti obumu ku ssomero lino bufuuse nkizo enkulu mu nkuza y’abaana.
Omukolo guno gwetabiddwako Omukiise w’Abavubuka mu Lukiiko lwa Buganda, Owek. Ann Namayanja Kigudde.
Ku mukolo guno, abazannyi b’omuzannyo gwa Lacrosse ku ssomero lino bajjukizizza abazadde ekikopo kye baawangudde mu mpaka z’amasomero e Tororo, era nga bakukiikirira Uganda mu za East Africa.