donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Abazadde Balabuddwa Obutapeeka Baana Bubonero

Abazadde Balabuddwa Obutapeeka Baana Bubonero
Wano nga okusaba kwakagwa, Owek. Mugumbule yetabye mu mmisa okusabira abayizi abagenda okutuula ebibuuzo eby’okyomusanvu.

Wano nga okusaba kwakagwa, Owek. Mugumbule yetabye mu mmisa okusabira abayizi abagenda okutuula ebibuuzo eby’okyomusanvu.

Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule yetabye mu mmisa etegekeddwa abakulira essomero lya Ridgeway Grammar School e Matugga okusabira abayizi abagenda okutuula ebibuuzo eby’okyomusanvu nga ekulembeddwamu Ssaabasumba w’essaza ekkulu Kampala, Paul Ssemogerere.

Owek. Patrick Luwaga Mugumbule abadde omugenyi omukulu, akubirizza abazadde obutateeka baana baabwe ku bunkenke nga baagala bafune obubonero obulunji mu bigezo bino ebyakamalirizo ng’agamba nti okubateeka ku bunkenke kiyinza okubaviirako okwetaba mu bikolwa ebittatana ekifanaanyi essomero kye lizimbidde ebbanga, okugeza okukoppa.

Bano bebaana bebasabidde. Owek. Mugumbule yebazizza Omuk. Ssenabulya olw’okwagala ennyo Obwakabaka.

Bano bebaana bebasabidde. Owek. Mugumbule yebazizza Omuk. Ssenabulya olw’okwagala ennyo Obwakabaka.

Owek. Mugumbule yebaziza nnyo omutandisi w’amasomero gano Omuk. Ssenabulya Evans Kanyike olw’okwagala ennyo Obwakabaka nga yakolagana naye bulungi ne mu kiseera weyali akyali omwami w’essaza Kyaddondo “Kaggo”.

Ssaabasumba Paul Ssemogerere asabye bannanyini masomero okubangula abaana b’eggwanga baleme kusoosoowaza nsimbi zokka wabula ssente basobolera ddala okuzifuna nga basitudde omutindo gw’ebyenjigiriza mu masomero gaabwe.

Ssaabasumba Ssemogerere era akubirizza abayizi okwolesa empisa ennungi mu kaseera kano ssaako okuwa abantu abakulu ekitiibwa nga bazzeeyo mu luwummula nga bamaze ebigezo byabwe.

Ye Omuk. Ssennabulya, nannyini masomero gano agamba nti abayizi babateeseteese bulungi era bakakafu nti baakuyitira waggulu.

Mu kiseera kino abayizi aba Siniya ey’okuna baatandise ebigezo byabwe ebyakamalirizo nga kati ab’ekibiina ekyomusanvu nabo bali bulindaala anti batandika ku ntandikwa y’omwezi ogujja okukola ebigezo byabwe ebibatwala mu Siniya.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK