Abazadde nga nga bawandiisa abaana ku bulange.
Abaana abawerako bawandiisiddwa okwetaba mu Kisaakaate ky'omwaka guno.
Olwa leero abasaakaate basimbudde ku Bulange neboolekera Gayaza ku ssomero lya Hormisdallen gyebanaamala ssabbiiti bbiri nga batendekebwa mu by'obuntubulamu, eby'emikono, enneeyisa, empisa, okuwa abantu ekitiibwa, okukola emirimu gy'awaka, n'okutumbula ebitone byabwe.
Ekisaakaate kiri wansi w’Omulamwa, "Okulafuubanira obuntubulamu".
Oweek Cotilda Nakate Kikomeko
Minisita webyenjigiriza n'Enkulaakulana y'Abantu, Oweek Cotilda Nakate Kikomeko asibiridde abasaakaate entanda ey'okwerwanako era balowooze ku biseera byabwe eby'omumaaso kubanga abazadde bakoze ogwabwe ogw'okubaweerayo ebisale.
Agamba nti Obuntubulamu kyekisooka mu kuzimba eggwanga, era abantu baleme ku kisaagiramu.
Eri abasigadde awaka, Oweek Nakate asabye abazadde bawe abaana obudde bazuule kyebali ate babateekemu empisa ey'okubeera n'omugaso mu nsi.