Choose Language

Luganda English

  
donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Abayizi ba Gombe SS - Kibibi bakiise Embuga okuwagira obwakabaka

Abayizi ba Gombe SS - Kibibi bakiise Embuga okuwagira obwakabaka
Image

Owek. Clotilda Nakate Kikomeko ng’ayaniriza abayizi okuva mu Gombe SS

Abayizi ba Gombe SS - Kibibi bakiise Embuga nga baleese ensimbi akakadde kamu okuwagira emirimu gy'Obwakabaka.

Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, yakwasizza abayizi bano ebbaluwa y’okubasiima (‘certificate’) okubebaza era n’okusiima obweyamo bwabwe okutumbula enkola eno gye baasalawo okwenyigiramu buli mwaka.

Owek. Clotilda Nakate Kikomeko ng’akwasa omukulu w’essomero n’abayizi satifikati gye baafunye

Owek. Clotilda Nakate Kikomeko ng’akwasa omukulu w’essomero n’abayizi satifikati gye baafunye

Owek. Nakate yebazizza abakulembeze b'essomero lino olw'okugunjula abaana mu ngeri ebaagazisa obuwangwa bwabwe, nga ky'agambye nti kino kiyamba okuteekateeka ebiseera by'omumaaso by’Eggwanga Buganda ebirungi.

Yannyonnyodde nti abaana bano bamalirivu ddala okuba “emiti emito,” abavubuka Kabaka be yalonda okuwangula omulembe gwe. Bakula nga batambulira mu buufu mu kwagala Buganda n’okwewaayo.

Mu bakiise Embuga, mwabaddeyo Bannankobazambogo, abayizi abasoma olulimi Oluganda, n’abalala abaawadde obuwangizi obw’enjawulo.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK