donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Abayizi 550 batikkiddwa mu masomo ag'enjawulo ku Ssettendekero wa Muteesa 1 Royal University

Abayizi 550 batikkiddwa mu masomo ag'enjawulo ku Ssettendekero wa Muteesa 1 Royal University
Image

Oweek Nakate kikomeko,Katikiro, omuyizi eyasinze banne Omulamuzi Ssebutinde Kyansala wa setendekero

Abayizi 550 batikkiddwa mu masomo ag'enjawulo ku Ssettendekero wa Muteesa 1 Royal University.

Ku bano abawala bali 363, ate abalenzi 217.

Omulamuzi Julia Ssebutinde, nga ye Kyansala wa University eno, yabatikkidde.

 

Omulamuzi Julia Ssebutinde yeeyamye okutuukiriza ekiragiro kya Ssaabasajja eky'okusoosowaza eby'obulimi mu masomo gaabwe n’agamba nti bagenda kubyongeramu amaanyi.

Omulamuzi Ssebutinde ategeezezza nti ayagala omasomo g'ebyobulimi gongerwemu amaanyi okutandika n'omwaka ogujja.

 

Okusinziira ku Mulamuzi Ssebutinde bagenda kulaba bwebasobola okutabika tekinologiya mu by’obulimi oluvannyuma kibunyisibwe mu masaza gonna nga batandika n'Essaza Buddu.

 

Okusinziira ku Katikkiro, Uganda eyinza obutawangula nsi z'abazungu mu kuvuganya mu bya tekinologiya wabula bw’ekituuka ku by'obulimi esobola okuzisingira ewala naddala singa biteekebwako essira nga Muteesa 1 Royal University bwekoze.

Image

Abamu kubayizi abatikiddwa.

Oweek Cotilda Nakate Kikomeko, Minisita w'ebyenjigiriza, ategeezezza abayizi nti ebisaanyizo ebisinga mu nsi z'empisa , noolwekyo bwebagenda mu nsi bakwate bulungi bendera ya Muteesa ne Buganda, omuli obumu, obwerufu, n'obwetowaaze. Akubirizza abazadde baleete abaana bafune basale bagende basome

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK