donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Abaweereza b'ebitongole by'obwakabaka bavuganyizza mu mizannyo egy'ebitongole byabwe

Abaweereza b'ebitongole by'obwakabaka bavuganyizza mu mizannyo egy'ebitongole byabwe
Image

Katikkiro Charles Peter Mayiga mu kifananyi ne tiimu eyawangudde.

Abaweereza b'ebitongole by'obwakabaka bavuganyizza mu mizannyo egy'ebitongole byabwe.

Bazannye emizannyo egyenjawulo omuli, okubala, okusika omuguwa, okusamba omupiira, volleyball, okudduka, n'emirala.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yabadde omugenyi omukulu era akwasizza abasukkulumye ku bannaabwe emidaali wamu n'ebirabo eby'enjawulo.

Bwabadde ayogerako gyebali, Katikkiro ategeezezza nti enteekateeka y'emizannyo gy'ebitongole erimu ebikulu 4.

1) fenna tuli mu team emu eya Ssaabasajja Kabaka, ekiruubirirwa kiri kimu okunyweza Ssemasonga ettaano n'okuzza Buganda ku ntikko.

Agamba nti kirungi abooluganda nebasisinkana, abasabye batwale omwoyo ogwo era gugende mu maaso. Era akubirizza ba Ssenkulu newankubadde balina abakozi batono beetabe mu nteekateeka eno.

2). Yebaziza abateesiteesi olwomulamwa ogwa Ommanyi? . Agamba nti teri kizibu kuba nga abakozi tobamanyi. Kikulu okumanyagana nga tuli ku mirimu.

3). Okwewummuzaamu. Agambye nti yadde tukola emirimu gyaffe, naye tetusaanye kwegulumiza nnyo, abasabye emirimu bagitambulize ku ngombo yobuteegulumiza nnyo.

4). Abasabye bakuume emibiri gyabwe nga miramu. Okukola dduyiro kitegeeza kusobola kufuga omubiri gwo, noolwekyo mu mujjumbire, era beegendereze okulya ennyama eyitiridde, n'ebisiike.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK