Abakulembeze nga bakuba ebirayiro
Oweek. Robert Serwanga Ssaalongo, Minisita w'Abavubuka, Emizannyo n'Ebitone atongoza obukulembeze bw'abavubuka mu Ssaza Kyaggwe era abaalondeddwa ne balayizibwa. Mu bubaka bwe, asabye abavubuka okuva mu kulera engalo, wabula banyiikire okukola.
Oweek. Harriet Namukasa ng'ono mukiise w'Abavubuka mu lukiiko lwa Buganda ku mukolo guno kw'asinzidde n'alaga obwennyamivu ku ngeri abavubuka gyebakozesa obubi emitimbagano bwatyo n'abasaba nti emitimbagano okugikozesa obulungi nga batundirako eby'amaguzi byabwe.
Oweek. Robert Serwanga Ssaalongo nga atudde wakatti mu kifananyi ekyawamu nakulembeze abalayizidwa
Ssekiboobo Oweek. David Nantajja ne Oweek. Ann Kigudde beebanirizza Minisita n'abagenyi be mu kulambula abavubuka mu Ssaza Kyaggwe. Omukolo guno gwetabiddwako Abaami ba Kabaka ku mitendera egy'enjawulo, abakulembeze b'Abavubuka n'abantu abalala.