
Einar Fogh okuva mu Denmark ne Owek. Hajj Ahmed Lwasa nga baggalawo olusirika lw’abakulembeze b’abavubuka mu Buganda, ku mabbali Owek. Robert Serwanga.
Olusirika lw’abakulembeze b’Abavubuka mu Buganda olututte ennaku ssatu nga luyindira ku kitebe ky’Ekitongole ky’Ebyobulambuzi mu Buganda lukomekkerezeddwa, era abatendekeddwa ne baweebwa amabaluwa.
Ku lwa Katikkiro, Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Hajj Ahmed Lwasa yagaddewo olusirika luno n’akuutira abavubuka okweyambisa amagezi ge bafunye mu misomo gy’ebabanguddwa, balwanirire omugabo gwa Buganda n’empeereza ez’omutindo.
“Abavubuka musome nnyo nnyo nnyo. Ekirungi nti tekinologiya waali; mumweyambise munonyereze. Amagezi ge munaafuna ge gajja okuyamba okutuukiriza ebibasuubirwamu. Ne bwekuba kuvuganya mu byobufuzi, obumanyi bujja kubayamba okuyimirira ku nsonga awatali kubuzaabuzibwa,” bwe yategeezezza Owek. Lwasa.
Ku lw’Obwakabaka bwa Buganda, Owek. Lwasa yebazizza bannamikago bonna abavuddeyo okubangula abavubuka ku ngeri gye basobola okubanja n’okulwanirira obuweereza obw’omutindo mu bitundu byabwe. Yeyamye nti Obwakabaka bujja kuwagira abavubuka okulaba nti bateeka mu nkola bye babanguseemu.
Ye Einar Fogh, munnansi wa Denmark ng’akola ne GIZ, ku lwa bannamikago abategekedde wamu musomo guno, yategeezezza nti balina essuubi lingi mu bavubuka ba Buganda—naddala ku kuba nga balina obukulembeze obulambikiddwa obulungi okuviira ddala mu byalo. Kino, bwe yagambye, kijja kwanguya okutuuza amagezi ku bantu bonna okusitukiramu okubanja obuweereza obw’obwerufu.

Owek. Hajj Ahmed Lwasa (wakati), ku kukono kwe wali Owek. Robert Serwanga, ate ku ndyo kwe wali Einar Fogh okuva mu Denmark, nga bali wamu n’abakulembeze b’Abavubuka mu Buganda mu kifaananyi ekyawamu.
Minisita w’Abavubuka mu Buganda, Owek. Robert Serwanga Ssaalongo, ategeezezza nti abakulembeze b’Abavubuka abeetabye mu lusirika luno bamaze okutikkibwa amagezi ag’okusobola okukola emirimu mu bitundu byabwe gituukirizibwe bulungi.
Yabasabye okukola ekibasuubirwamu okuzimba Buganda yaabwe, era n’abakuutidde okubanja obuweereza n’okulonkoma abo abalemesa obuweereza bwa Gavumenti obuteekwa okuba nga bwa bwerufu.
Ye Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda, Munnamateeka Derrick Kavuma, yagambye nti:
“Ekirwadde ekisinga okubeera eky’amaanyi ekisanyizaawo abantu n’abakulembeze kwe butamanya. Omukulembeze atalina kumanya talina ky’ayinza kugamba bantu be.”
Ono yebazizza nnyo Obwakabaka olw’enteekateeka eno gye yagambye nti esitudde entegeera y’Abavubuka ku bintu bingi bye babadde tebamanyi.
Enkolagana wakati w’Obwakabaka ne bannamikago okuli GIZ, woofiisi ya Kalondoozi wa Gavumenti, woofiisi ya Ssaabalirizi w’ebitabo bya Gavumenti n’ebirala, esookeddewo okuvaamu okutendeka kw’Abavubuka 50. Abasooka abangi 25 baatendekeddwa okuva nga 20–22 omwezi guno, ate abalala bajja kutendekebwa okuva nga 27–29 omwezi guno. Abavubuka bonna baweereddwa empapula ezikakasa okutendekebwa kwabwe.
Abavubuka 50 okuva mu bitundu eby’enjawulo mu Buganda be beetabye mu lusirika lwa nnaku ssatu olwayindidde ku kitebe ky’Ekitongole ky’Ebyobulambuzi mu Buganda, mu nteekateeka eyategekeddwa Obwakabaka n’abannamikago.
