Omulangira Wassajja nga ayogerako eri abavubuka
Omulangira David Wasajja, Omuyima w'Abavubuka mu Buganda era abadde omugenyi omukulu, asabye Abavubuka okulwanirira ekitiibwa kya Buganda nga bakulembeza obugumiikiriza n'obumalirivu ku nsonga ez'enjawulo naddala ezo eziyamba abantu ba Kabaka, beewale n’okwagala eby'obugagga ebyamangu.
Omutaka Kasujja ku lw'Abataka Asiimye nnyo enteekateeka ekoledwa Abavubuka, era abasabye bulijjo okwongera okunyweza oluganda nga bayita mu bintu nga bino, era asabye abavubuka okwenyigira mu nteekateeka z'Ebika byabwe.
Omulangira nga agabuddwa wamunabakulembeze baba vubuka
Minisita w'Abavubuka Oweek. Robert Sserwanga asabye abavubuka okubeera obumu okusobola okutuuka ku buwanguzi mu byonna bye baluubirira era abakuutidde okwagala ennyo eddiini zaabwe n'okuzikolerako awatali kwekwekerera.
Omuk. Baker Ssejjengo, Ssentebe w'Abavubuka mu Buganda ategeezeza nti Obukulembeze bw'Abavubuka bulina enteekateeka ngazi era ng'oggyeko okusiibulula abasiraamu nga bwe bakikola buli mwaka, balina enteekateeka ey'okuyambako abaana abasoma mu Masaza ag'enjawulo n'ebikozesebwa ku ssomero, era yeebaziza bonna ababakwasizaako mu kutuukiriza obuweereza bwabwe eri abavubuka.
Omukolo guno gwetabiddwako Ba Jjajja Abakulu b'Obusolya, Omutaka Kasujja Kyesimba ow'Ekika ky'Engeye, Omutaka Muteesaasira Tendo ow'Ekika ky'Engo, Oweek. Mariam Mayanja Nkalubo, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, Oweek. Sulaiman Magala Katambala, Oweek. Rashid Lukwago, ba Ssenkulu b'ebitongole eby'Obwakabaka, abakulembeze b'Abavubuka n'abagenyi abalala ab'enjawulo.