Abataka nga bavudde mulukiiko
Ab'Ekika ky'Emmamba Namakaka banjudde Katikkiro waabwe omuggya ate abe Nkerebwe nabo banjudde abamyuka ba Katikkiro waabwe.
Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka Omutaka Augustine Kizito Mutumba asabye abaweereddwa obuvunaanyizibwa okubukola obulungi, naddala okukumaakuma abazukkulu okulaba nga bali Bumu.