Omwami w’Okabaka wakati n’abakulembeze abalala
Wadde tuli Bulaaya naye tuwagire emirimu gya Ssaabasajja Kabaka - Owek. Henry Ndawula.
Omubaka wa Ssaabasajja mu Ssaza lya New England mu Boston, Massachusetts, Owek. Henry Ndawula asinzidde ku mukolo gwa "Buganda Day 2024" ogwakuziddwa ku American Legion e Newton mu Massachusetts, n'akubirizza abantu ba Beene okwongera okujjumbira emirimu gya Buganda egikolebwa mu kitundu kino.
Abaana nga bolesa ebitone
Yeebazizza nnyo abo abjjumbira enteekateeka za Buganda zonna era n'abasaba okukubiriza bannaabwe abakyagayadde nabo benyigiramu ng'akikaatiriza nti buvunaanyizibwa bwa buli Muganda okuwagira emirimu gya Ssaabasajja Kabaka buli mwaka naddala okuyita mu nteekateeka ya 'Luwalo Lwaffe'