Omubaka wa Kabaka nga asala keki na abaana abato
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka abawangaalira mu Ssaza lye New England Boston mu America bajaguzza olwa Ssaabasajja Kabaka okuweeza emyaka 31 ng'atudde ku Nnamulondo ya bajjajjabe.
Kino bakikoze nga bayitira mu kutegeka mpaka z'emizannyo nga bayitira mu bika byabwe. Mu mizannyo gino mubaddemu okudduka, okusika omugwa, okuddukira mu kutiya, okutambuza eggi ku jjiko n'emirala.
Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu ssaza lino Owek. Henry Matovu Ndawula yeetabye butereevu mu mizannyo gino era yeebazizza nnyo ekibiina kya Ggwanga Mujje Boston, olwokutegekanga emizannyo gino buli mwaka ate nga ku mulundi guno enteekateeka zitambulidde ku mulamwa gw'amatikkira ogw'okukuuma obumu bw'abantu ba Ssaabasajja Kabaka mu bendobendo lino.
Yeebazizza nnyo abazadde abaleese abaana abato kuba kino kibongera okumanya ebika byaabwe mwebasibuka.
Abaana nga benyigira mu muzannyo gwo kusika omugwa
Bazzukulu ba Kisolo ab'Engonge bebawangudde engabo y'omwaka guno oluvannyuma lwokusukkuluma ku Bika ebirala.
Ye Ssentebe wa Ggwanga Mujje Boston, Muky. Rebecca Nansasi yeebazizza nnyo Ebika ebyetabye mu mizannyo gyonna naasaba Ebika byonna okwetabanga mu mizannyo gino awamu n’okuvujirira enteekateeka eno eyongera obumu mu bantu ba Ssabasajja Kabaka.
Omumyuuka wa Ssentebe w'ekibiina ekigatta ba Nnayuganda mu America- UNAA Omw. Charles Muvawala yasabye abantu ba Ssaabasajja Kabaka okwongera obumu obweyolese mu nteekateeka eno, awamu n'okusomesa abaana olulimi oluganda kubanga bebagenda okwongera enteekateeka zino mu maaso bbo nga bavuddewo.
Omukolo gwetabiddwako Omumyuka w'omubaka wa Ssaabasajja, Omuk. Fiona Nattabi Kafeero. Owek. Kato Kajubi omubaka wa Ssaabasajja eyawummula, ssaako Abalangira nabambejja.