donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Abantu ba Kabaka okuva mu bitundu eby'enjawulo bakiise embuga okuwagira emirimu gy’obwakabaka

Abantu ba Kabaka okuva mu bitundu eby'enjawulo bakiise embuga okuwagira emirimu gy’obwakabaka
Image

Abebugerere nga bawa obubakabwabwe

Abantu ba Kabaka okuva e Butambala, Bugerere, Ssingo, Abaluŋŋamya b'emikolo, Bannakisinde kya DP Block, n'abayizi ba MUMSA High School bakedde Embuga okuleeta oluwalo lwabwe.

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, y’agenda okubattikula, ate Owek. Noah Kiyimba y'aliwo ku lw'omuwandiisi wa Gavumenti ez'ebitundu mu Buganda.

Omumyuka owokubiri owakatikkiro nabakulu abalala nga banirza abantu bakabaka

Omumyuka owokubiri owakatikkiro nabakulu abalala nga banirza abantu bakabaka

Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro, agamba nti Gavumenti ya Ssaabasajja esaba abantu ba Buganda okugenda mu maaso n'okulima emmwanyi era Obwakabaka bwawadde ekitongole kya Mwanyi Terimba Limited ettaka e Nakisunga, ewagenda okuzimbibwa ekyuma ekisunsula emmwanyi n'ekisiika kaawa nga kigendereddwamu okwongera okugatta omutindo ku mmwanyi.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK