
Oweek Joseph Kawuki nga akwasa Mw. John Kisekka satifikati y'oluwalo
Abantu ba Kabaka mu Midwest mu America bakiise embuga n'oluwalo lwa bukadde busatu.
Bano bakulembeddwamu Mw. John Kisekka nga yaakiikiridde Omubaka wa Kabaka owa Midwest, Oweek Adbul Azizi Damulira.
Bwabadde abaaniriza ku mbuga enkulu ey'Obwakabaka, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, asanyukidde nnyo okulaba nga baleese abaana okumanya ebintu nga bwebitambula mu Bwakabaka, era kino kyongera okubanywereza ku Kabaka waabwe n'eggwanga lyabwe Buganda.
Minisita Kawuki abanjulidde ebintu ebikolebwa mu nsimbi eziva mu luwalo omuli, okuteekateeka ensiisira z'ebyobulamu, okuyigiriza abaana ebifa ku Bika byabwe, mmwanyi terimba, okutumbula ebyenjigiriza (Kabaka Education Fund), okulabirira emirimu gy'Obwakabaka okuli n'ebizimbe omuddukanyizibwa emirimu.
Abatumye bagende bakubirize abalala beenyigire mu kaweefube w'o luwalo okusobola okuzza Buganda ku ntikko.

Oweek Joseph Kawuki nga ayaniriza Mw. Kisekka okuva mu USA
Abasabye bannyikize eky'okuyigiriza abaana obuwangwa bwabwe naddala olulimi oluganda kubanga bebajja okukuumira Buganda ku ntikko mu biseera eby'omumaaso.
Mu ngeri yeemu Mw. Ronald Mukiibi owe USA ayise mu nteekateeka eno nadduukirira eddwaliro lya Nkozi Trauma center mu ngeri eyenjawulo.
Ensisinkano yetabiddwamu Omuwandiisi w'Enkalakkalira mu Woofiisi ya Katikkiro, Omukungu Josephine Nantege, Kamisona Harris Lubega, Omukwanaganya w'abantu ba Buganda ebweru Ronald Kalungi, ne banna Kampala okuva mu masaza ga Buganda gonna.