
Emikolo nga gigenda mumaaso.
Basabidde Kabaka omutonzi amuwe obulamu obulungi.
Omukolo ogutegekeddwa mu kibuga Toronto, gukulembeddwamu ekitambiro ky’emmisa ekiyimbiddwa Rev. Fr. Cyril Balaba okuva mu diocese y’e Mityana, awonze Ssaabasajja Kabaka mu mikono gy’omutonzi amuwe obulamu obulungi, amagezi, n’obuwangaazi, era obubaka buno busabise mu zabbuli 72.
Omutambizi Cyril Balaba, yebazizza Omutanda olw’okukumaakuma n’okulondoola abantu be yonna gyebali, ng’ayita mu bajju basiimye okutuusa obubaka bwe eri abantu be.
Katikkiro Charles Peter Mayiga, mu bubaka bwe bwasomedde ku mutuku gwa Zoom, nga asinziira mu kakkalabizo lye ku Bulange, yebazizza ab’e Canada ensimbi zebawaayo okusimira abantu b’e byalo, enzizi z’amazzi ennungi, n’abasaba okugenda mu maaso n’omwoyo ogwo.

Owek. Katikkiro nga awa obubakabwe.
Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, mu bubaka bwe bwayisizza ku mutimbagano, ababuulidde nti embeera y’obulamu bwa Ssaabasajja Kabaka eyongedde okutereera era akola emirimo gye nga agoberera okulambikibwa kw’abasawo.
Abeebazizza enteekateeka y’okusabira Kabaka n’Obuganda eya buli mwaka, n’agaamba nti okuva obwakabaka lwe bwafuna obwetwaze, Abaganda tebajulirira bafuzi b’amatwale, baafuna ekikubagizo kya Kabaka kubanga emirundi mingi Ssaabasajja Kabaka ye ng’abo y’abanyigirizibwa, era ekikubagizo ky’embeera z’abantu zebayitamu mu nsi yabwe.

Omubaka wa Kabaka nga awa obubakabwe
Annyonnyodde nti Abaganda beenyumiriza nnyo mu bwetwaze buno olw’obukulembeze obulungi obwa Ssekabaka Edward Frederick Walugembe Muteesa II ne Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Abategeezezza nti wakati mu bisomooza obwakabaka, wakyaliwo obumulumulu obuva mu myaka gye 60, obulinga obusikire omuli ebintu Buganda byebanja Gavumenti ebitaddizibwanga okutuusa kati, wabula kino tekiremesezza Buganda kugenda mu maaso, era waliwo bingi eby’enkulaakulana ebituukiddwako.
Guno mulundi gwa musanvu nga abantu ba Kabaka e Canada bategeka Olunaku lw’okusabira Kabaka n’Obwakabaka buli mwaka.