Oweek Patrick Nalikka Ssendegeya n'owesazza ly'e Singo wamu nabatuuze
Oweek Patrick Nalikka Ssendegeya, omwami wa Ssaabasajja atwala e Ssaza lya North West Coast America (Northern California: Sanfrancisco ne Nevada) alambudde oluzzi lwa nayikondo oluzimbiddwa abantu ba Kabaka ab'e Ssaza eryo nga bayambibwako Rotary Club of Antioch ku ssomero lya Kikooba Infant and Primary School e Kikooba mu Ggombolola ya Mutuba III Bukomero mu Ssingo.
Omwami w'Essaza Ssingo, Mukwenda David Nantaggya, yamwanirizza kulwa Minisita w'ensonga za Buganda Ebweru, Oweek Joseph Kawuki, era amulambuzza oluzzi luno okumulaga ensimbi ezaabaweebwa omulimu gwe zikoze.
Oweek Mukwenda David Nantaggya, nga yanirizza Oweek Patrick Nalikka Ssendegeya kulwa Minisita Joseph Kawuki
Mukwenda alaze obweraliikirivu olw'ebbula ly'amazzi amayonjo mu District ya Kiboga ne Kyankwanzi era asuubira nti kaweefube wokuzimba enzizi zino ajja kuleetawo akamwenyumwenyu mu bantu b'omu bitundu bino. Era wano wasinzidde neyeebaza Ssaabasajja Kabaka olw'omukisa gwabadde nga kati enzizi eziwera 847 ze zaakazimbibwa aba Wells of Life mu Buganda n'ekigendererwa eky'okufunira abantu amazzi amayonjo ng'omu ku kaweefube w'okutumbula eby'obulamu.
Bwabadde ayogerako eri abatuuze ku kyalo kino awazimbiddwa oluzzi luno, Oweekitiibwa Nalikka agambye nti kino bakikoze olwokwagala okuwagira n'okudduukirira omulanga gwa Ssaabasajja Kabaka ogw'okutumbula eby'obulamu mu bantu ba Buganda nga bafuna amazzi amayonjo. Takomye okwo alaze nti obwetaavu bukyaliwo obw'okusitula omutindo gw'ebyenjigiriza, era awaddeyo ddoola za America 1000 ziyambeko okuvujjirira ensawo y'ebyenjigiriza abayizi kwebafunira bbasale ne sikaala eya Kabaka Education Fund.
Ssenkulu w'ekitongole kya BUCADEF Omukungu. Robert Mugenyi Musenze nga bano be basaale mu kulaba nga omulimu gw'okusima enzizi zino gutambula bukwakku, ategeezezza nti essira balitadde nnyo ku by'obulamu okulaba nga abantu bafuna amazzi amayonjo agasimiddwa ekitongole kya Wells of Life.
Enteekateeka zokukwasa abatuuze oluzzi luno zigenda mu maaso.