
Abantu ba Kabaka abakozesa emitimbagano egy’enjawulo — nga X (eyali Twitter), TikTok, Facebook, YouTube n’emirala — batongozza enteekateeka gye bayise “Bannamutimbagano Okukiika Embuga.”
Bano bagenda kukiika e Mbuga nga 26 Ogw’omunaana, 2025, nga bagenderera okutwala oluwalo eri Ssaabasajja Kabaka mu ngeri y’omulembe.