Eno y'entanda gye baatisse Ppookino, Oweek Jude Muleke, bwe yabadde abasisinkanye ku lw'Obwakabaka, mu kibuga Gaborone.
Baasabye nti newankubadde bakyali batono, balowoozebweko okubafuula essaza lya Kabaka, kibayambe okwekumaakuma nga bayita mu mukulembeze Kabaka gwanaabawa.
Baabuuzizza ebibuuzo ku nteekateeka z'Obwakabaka, omuli bwe basobola okuyambibwa okufuna amayumba mu estate za Buganda, ensonga za PEWOSA, okugula emigabo mu company z'Obwakabaka, n'ebirala bingi.
Beebazizza nnyo Ssabasajja Kabaka okubalowoozaako n'abasindikira ababaka, era nebawera nga bwebatasigadde kyekimu, kuba gwe mulundi ogusoose okufuna abagenyi abatongole okuva mu Bwakabaka bwa Buganda.