Entikko y'emikolo ebadde Bugerere ku mbuga y'Essaza, era Omukubiriza w’Olukiiko lw'Abataka ab'Obusolya, Omutaka Namwama, Augustine Kizito Mutumba, yabadde omugenyi omukulu nga akiikiridde Katikkiro.
Mu bubaka bwe, Omutaka Namwama, asabye abantu okubeera n’omugongo n’okutambulira ku musingi gw'ennono n’obuwangawa bwa Buganda, beewale okuwuddiisibwa ennono ezaleetebwa abafuzi b'amatwale.
Omutaka asoose kulambula ddwaliro lya Kayunga Referral hospital, gyasinzidde neyebaza abasawo abakola omulimu gw'okujjanja abantu ba Kabaka.
Omutaka Namwama, era akubiriza abantu okwetangira eddwadde ezisobola okwewalika olwo eddwaliro lijjanjabe abo abayi bokka olwo nekigendererwa Kya Ssaabasajja eky'okukuuma abantu nga balamu kituukirire.
Ssentebe w'abalungamya b'emikolo, Isma Kajja alaze ebituukiddwako, omuli, okubatongoza, okuwandiika ekitabo kyabafumbo, n'ebirala.