
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abakyala okugaana abasajja ababasendasenda okugenda mu bikolwa eby’omukwano nga tebasoose kwekebeza okumanya bwe bayimiridde.
Katikkiro akaama kano eri abakyala akabaweeredde mu Bulange e Mengo, era Obwakabaka bwe bubadde bujjukira olunaku lwa Mukenenya n’enteekateeka ey’okukola dduyiro wamu n’omusomo ku mukenenya.
Katikkiro agamba nti omuwendo gw’abakyala abalina Mukenenya okubeera waggulu kyeraliikiriza nnyo, ate nga abasajja be babasindiikiriza mu bikolwa ebireeta Mukenenya, nga babagulira obulabo, okubawa ssente, n’okubagamba obugambo obubasikiriza.
Akubirizza abantu ba Buganda bonna okubeera abalabufu ku bulwadde bwa Mukenenya kubanga Ssaabasajja Kabaka ye munyenye mu kulwanyisa Mukenenya, era kiswaza omuntu obutamanya ngeri yakulwanyisa bulwadde buno.
Mu Bwakabaka, olunaku lwa Mukenenya tulwefumiitirizzaako nga tukola dduyiro n’okwebuulirira ku ngeri y’okubulwanyisa. Obulwadde bwa Mukenenya abasajja basinga okubutambuza nga basendasenda abakyala okugwa nabo mu mukwano, kale twagala abakyala mubeere abalabufu.

Abakyala mugaane; temukkiriza kugenda mu bikolwa bya mukwano na basajja nga temusoose kutegeera bwe bayimiridde.
Ku mulembe guno, Omutebi, nga Kabaka ye munyenye mu kulwanyisa Mukenenya, ffenna tusaana okubeera abalabufu ddala; tubakubiriza okwekebeza, abalwadde okumira eddagala, n’obutasosola balwadde.
Bwatyo Katikkiro Charles Peter Mayiga byeya nyonyodde.
