donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Abakyala mu Ssingo balabudde ku nkozesa y’omutimbagano embi

Abakyala mu Ssingo balabudde ku nkozesa y’omutimbagano embi
Oweek. Agnes Nkugwa ng'ayogera eri abantu abakunganidde ku mukolo guno e Mutuba 1, Bukuya mu Disitulikiti y'e Kasanda

Oweek. Agnes Nkugwa ng'ayogera eri abantu abakunganidde ku mukolo guno e Mutuba 1, Bukuya mu Disitulikiti y'e Kasanda

Abakyala Ba Buganda mu Ssaza Ssingo balaze obutali bumativu ku bantu abakozesa obubi emitimbagano mu kuvvoola Obwakabaka bwa Buganda n’abaweereza ba Kabaka.

Bano baayogedde bino nga basinzidde ku mukolo gw’Abakyala Ba Buganda ab’e Ssingo ogwategekeddwa ku mbuga ya Ggombolola Mutuba 1 Bukuya mu Disitulikiti ye Kasanda.

Nga bakulembeddwamu Oweek. Agnes Nkugwa, akulira ekitongole ky’Abakyala n’Abaana mu Ssaza Ssingo, bawadde amagezi abazadde okukomya abaana baabwe ku bintu bye bateeka ku mitimbagano. Era yebazizza Obwakabaka olw’okutandika emisomo egy’enjawulo okugonjoola obutabanguko mu maka.

Oweek. Nkugwa asabye abaana obutasirika nga bafuna okutulugunyizibwa mu maka gaabwe. Yagamba nti kwekwasa obukulembeze bwa Buganda n’ebitongole eby’enjawulo kijja kuyamba mu kugonjoola ensonga zino.

Image

Abakyala balaga obukugu bwabwe mu kufumba, okukola amanda, n’okufumba emmere ennansi, nga boolese ku busobozi bwabwe mu mirimu

Mu alipoota eyayanjuddwa ku mukolo guno, abakyala balaze ebizibu eby’enjawulo bye bayitamu mu maka, omuli obutabanguko, obujeemu bw’abaana, n’okubulwa ensimbi ezikola ku bulamu bw’amaka.

Abamu ku bebyokwerinda abaabaddewo baasabye abazadde okweyunira ennyo ebyokwerinda nga bayita mu kitongole kya Poliisi ekikola ku nsonga z’Abaana n’Amaka. Baagambye nti okuyiga amateeka n’okufuna obuyambi kisobola okutereeza embeera zino.

Ku mukolo guno, abakyala boolesezza ebintu eby’enjawulo, omuli okufumba, okukola amanda, emmere ennansi, n’ebirala ebiraga obukugu mu mirimu gyabwe.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK