Oweek Patrick Luwaga Mugumbule nga ayogerako eri abakyala
Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule asabye abakyala okufaayo ennyo ku nkuza y'abaana, kubanga mu Maka be basinga okumala obudde obungi n'Abaana.
Bino abyogeredde mu maka ga Ssaabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda Steven Kazimba Mugalu ku mukolo Abakyala b'Ekkanisa abafumbo okuva mu mabendobendo ag'enjawulo 'Provincial Mother's Union' kwe bajagulizza olunaku lwabwe ate n'okusonda ensimbi ez'okuzimba ekitebe kyabwe.
Oweek. Mugumbule era asabye abafumbo okwewala okunyigira obusongasonga, kubanga kino kitta okuwuliziganya wakati waabwe ekisobola n'okutta obufumbo. Bwatyo ne yeebaza ekibiina kya Mother's Union ekikumaakuma abakyala okutambuza obulungi amaka gaabwe.