Katikkiro ku dyo n'olukiiko olukulembera Muteesa 1 University
Bakulembeddwamu Ssentebe w'olukiiko olufuzi, Dr. Gorret Nakabugo, amyuka Kyansala Prof. Vincent Kakembo n'abakulira ebitongole eby'enjawulo ku Ssettendekero ono.
Bwabadde ayanjula olutabaalo lwokufuna charter, Ssentebe w’Olukiiko olufuzi olwa University eno, Dr. Gorret Nakabugo, agambye nti mu byebaasooka okwetema ng'olukiiko olufuzi bwebaali bakajja mu buweereza, kwekuggusa omulimu gwokufuna charter, era bingi ebibadde bibabuuzibwa National Council for higher education naye ekikulu ku bbyo ze ssente, era yeebazizza eggwanika lya Buganda olwobuvujjirizi obutali bumu.
Ategeezezza nti oluvannyuma lw'okufuna charter, bagenda kunnyikiza okunoonyereza kwabwe nga bayambibwako obukugu okuva mu basomesa bwebalina obwa Doctorate, PhD, era bagenda kutwala Ssettendekero wa Muteesa mu bantu gyebali babayigirize eby'okulima, ebyasaayansi, tekinologiya n'obuyiiya.
Akulira amyuka Kyansala wa Muteesa I Royal University, Prof. Vincent Kakembo, alaze amakulu agali mu kufuna charter, okuli, amasomo agasomesebwa gali ku mutendera gwa nsi yonna, charter eyambako okufuna bannamikago n'obuyambi, abayizi basobola okweyongerayo mu matendekero amalala ku madaala ga masters ne phd, era abayizi basobola okufuna ku nsimbi za loan ezigabibwa Gavumenti eri abayizi basobole okumaliriza emisomo gyabwe.
Katikkiro nga ayogerako eri abakulembeze ba Muteesa 1 royal University
Minisita w'ebyenjigiriza n'enkulaakulana y'Abantu mu Bwakabaka, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, ategeezezza nti Minisitule gyakulembera egenda kubeera nsaale okulaba nga eby'enjigiriza ebituukiridde bituuka mu bantu ba Ssaabasajja wansi gyebali era beeyamye okuwa abakulembeze, abasomesa, n'abayizi ba Ssetendekero ono amaanyi batuukirize obuvunaanyizibwa bwabwe.
Mu kwogera kwe, Katikkiro ayagala abayizi abava ku Muteesa I Royal University nga banyiikivu, bayiiya, ate nga bakola n'okwagala.
Asabye abakulira Muteesa I Royal University, okufuba okulaba nga Ssettendekero ono alina kymanyiddwako eky'enkizo naddala eby'obulimi basaanye okubikulembeza, nga n'abakugu mu kulima, eby'obulamu, abasomesa abakugu abajja okusomesa ebintu ebitegeerekeka mu ggwanga, mu by'obulambuzi, bava ku Muteesa nebayigiriza abalala.
Wabula asabye abayizi babeere n'obuntubulamu.