Abakulira ekitongole kya Bulungibwansi n’Oweek Hajjati Mariam Mayanja nga bamaze okutendekebwa
Banna bulungibwansi bano okubangulwa kuno kubaweereddwa Minisita wa Bulungibwansi, obutondebwensi n'ekikula ky'Abantu, Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja.
Abagambye nti basaanide okukola emirimu mu nkola ey'omulembe omutebi bave mu mirembe egyayita.
Mu kino balina okugunjaawo emirimu, bakole alipoota empandiike, balage enjuuyi zombi ku bibasomooza n'ebyo ebitambudde obulungi.
Abamu ku bano, basomye alipoota empandiike ze bazze nazo era ezimu ku zzo ziraze nga bwe baasimba emiti mu bifo e by'enkalakkalira okuli amasomero, amalwaliro, baatuuza enkiiko z'ekitongole okutema empenda ezibatwala mu maaso, okukubiriza abantu okukola bulungibwansi mu bifo mwe baddukanyiza emirimu gyabwe n'okunnyikiza bulungibwansi owoomuggundo.
Era bakiraze nti kikulu nnyo okutambuliza kaweefube ono mu baana naddala abaamasomero olwo omumuli gwa bulungibwansi gusigale nga gutambula.
Omusomo nga gugeenda mu maaso
Minisita Mariam era abasabye batambulize wamu ebitongole byombi ekya bulungibwansi ne butondebwensi era bafube okunoonyereza ku kiki ekireese obujama, era be kenneenye amawanga ag'enjawulo agayingidde mu Buganda agazze n'embeera ezitali zimu ezitagoberera nnono ya kitundu kye bayingiddemu.
Abasabye bakubirize abantu okufuna ebipipa mwebayiwa kasasiro nakyo kiyambeko okukuuma obuyonjo, era tebakoma okwo bulungibwansi bamuteekemu polojekiti ez'enkulaakulana, bakole obukulembeze obuggumidde okuva ku butongole okutuukira ddala mu Ssaza.