Oweek Robert Waggwa Nsibirwa nga ayogerako eri abataka
Bwabadde aggalawo olusirika lw'abaamasaza n'Abamyuka, abaweereza mu Minisitule ya Gavumenti ez’Ebitundu, olumaze ennaku ssatu ku Pope Paul Hotel mu Ndeeba, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, anokoddeyo ensonga y'okukwata obudde, ennyambala, enneeyisa, enjogera, nga bwe bumu ku bubonero obwoleka omukulembeze omutuufu naategeeza nti abantu bagoberera nnyo oyo akozesa ebikolwa okusinga ow'ebigambo.
Abakuutidde buli mwaka babeeko ekintu kyebaggusa baleme kubeera ba byekwaso kubanga obukulembeze buba buvunaanyizibwa obulina okuggussibwa nga kino akikola mu buyiiya, n'obukodyo obusobozesa e Ssaza okuyingiza ensimbi nerikulaakulana.
Abakuutidde okuboola oyo avvoola obwakabaka n'ekigendererwa eky'okunafuya Nnamulondo. Ku mikolo bamumme akazindaalo, bamwewale era bamwatulire ensobi ye ajimanye.
Mu kusooka, Oweek Waggwa Nsibirwa, yawadde omusomo ku federo ey'ebikolwa n'agamba nti Buganda esenvudde era kati gyeraga erabayo.
Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, Omukubiriza w'Olukiiko lw'Abataka nga ayogerako eri abamasaza
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, asabye baami baddeyo beetunuulire mwebyo ebyogeddwako bwebiba bikosa obukulembeze bwabwe babitereeze era y'ensonga lwaki baweereddwa ebitabo n'ebiwandiiko by'obwakabaka omuli ekitabo omuwandiikibwa ebinaakolebwa, eky'embalirira, n'ekikozesebwa mu kugula ebintu.
Ku nsonga y'obuwangwa n'ennono, omutaka Namwama asomesezza abakiise ku kwabya olumbe ennyingiza n'enfulumya yalwo, omusika byalina okukola, n'obuvunaanyizibwa bw'omusumisi.
Olusirika lwa ggulwawo Katikkiro, era lubaddemu abasomesa abasomesezza ku miramwa egy'enjawulo omuli, enzirukanya y'emirimu, obukulembeze, federo ey’ebikolwa n'ebirala.