donate

Choose Language

Select your language

donate

Abakulembeze b'Obusinga bwa Rwenzururu bakyalidde Obwakabaka bwa Buganda okusaka amagezi ku ntambuza y'emirimu

Abakulembeze b'Obusinga bwa Rwenzururu bakyalidde Obwakabaka bwa Buganda okusaka amagezi ku ntambuza y'emirimu
Owek. Omukubiriza w'Olukiiko Patrick Mugumbule ayaniriza abagenyi okuva mu Bwakabaka bwa Rwenzururu ku Bulange Mmengo

Owek. Omukubiriza w'Olukiiko Patrick Mugumbule ayaniriza abagenyi okuva mu Bwakabaka bwa Rwenzururu ku Bulange Mmengo

Kkabineeti y'Obusinga bwa Rwenzururu, ng'ekulembeddwamu Omumyuka wa Katikkiro Rt. Hon. Kule Benson Baritazale, yakyalidde Embuga ku Bulange Mmengo ku Lwokusatu okusaka amagezi ku ntambuza y'emirimu mu Bwakabaka bwa Buganda.

Enkolagana eno yagguddewo omukisa gw'okwongera okunyweza obumu n'okugabana amagezi ku nteekateeka z'obukulembeze mu Bwakabaka.

Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, yayanirizza abakulembeze b'Obusinga bwa Rwenzururu bano ng'ali wamu ne Baminisita ba Kabaka abalala n'abategeeza nga Buganda bw'eyagala okutumbula enkolagana n'obufuzi bw'ennono obutaliimu byabufuzi.

Yagambya nti enkolagana ey'ekika kino eleeta obutebenkevu n'okutumbula enkulaakulana mu bantu.

Abagenyi okuva mu Businga bwa Rwenzururu balambuzibwa Owek. Mugumbule mu Kisenge awatuulirwa Olukiiko lwa Buganda

Abagenyi okuva mu Businga bwa Rwenzururu balambuzibwa Owek. Mugumbule mu Kisenge awatuulirwa Olukiiko lwa Buganda

Mu kusisinkana kuno, abagenyi okuva mu Businga bwa Rwenzururu balambuziddwa ebifo ebikolerwamu emirimu n'enteekateeka ez'enjawulo mu Buganda okuli ekisenge awatuula Olukiiko lwa Buganda, Woofiisi za BBS Terefayina, CBS FM ne Buganda Land Board.

Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, yannyonnyodde ku ensengeka y'obukulembeze mu Buganda, enkolagana n'abantu enkulaakulana ez'enjawulo n'engeri gye zituukibwako n'ebintu ebirala.

Owek. Nsibirwa yayongeddeko nti obukulembeze bw'ennono busobola okutwala omutindo gw'obuweereza eri abantu nga bwe batumbula amagezi n'obufuzi obutalina kyekubiira. Okusisinkana kuno kulowoozebwa okuleeta obutebenkevu n'enkulaakulana ey'omugaso eri obwakabaka byombi.

Owek. Robert Waggwa Nsibirwa agabana amagezi ku bukulembeze bw'ennono bwa Buganda n'abagenyi okuva mu Businga bwa Rwenzururu

Yanyonyodde nti ensonga enkulu eziyamba Obwakabaka okutuukiriza emirimu egy’enjawulo bwe buyiiya, obwerufu, empuliziganya ennungi, okussa ekitiibwa mu buwangwa n’ennono, obumu wamu n’omukwano abantu ba Buganda gwe balina eri Kabaka n’obuvo bwabwe.

Abakulembeze okuva mu Bwakabaka bwa Rwenzururu basiimye Buganda okusembeza abagenyi n’enkolagana ey’omukwano eyabaaniriza. Bano boogedde ku mikisa gy’okuwanyisiganya okumanya n’okubuulira engeri obwakabaka bwabwe gye bugenderera okutumbula empeereza y’okutuusa abantu baabwe nga bwe bayigira ku nsengeka z’enzirukanya y’emirimu mu Bwakabaka bwa Buganda.

Baminisita ba Kabaka ab’enjawulo okubadde; Owek. Noah Kiyimba, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, Owek. Anthony Wamala, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo nabo baliko obubaka bwebawadde abagenyi.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK