Oweek Noah Kiyimba nga ayogerako eri abantu ba kabaka
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga mu bubaka bwatisse Oweek. Noah Kiyimba mu kutikkula oluwalo okuva mu Bannabuddu abakiise Embuga, akubirizza abakulembeze okunyweza obumu mu bantu, okwewala ebiyinza okuva mu butakanya obwenjawulo.
Ayongeddeko nti obumu buno bwe bunaayamba n'abakulembeze okuggusa obuvunaanyizibwa Kabaka bwe yabakwasa naddala obw'okusitula embeera z'abantu be.
Bano era abakuutidde n'okufaayo ennyo okusomesa abaana baabwe basobole okubeera n'ebiseera by'omumaaso ebitangaavu.
Oweek Noah Kiyimba wakati mu kifananyi ne bana Buddu abakise embuga
Ku lulwe Oweek. Kiyimba alabudde abantu naddala ab'e Kyobe ku bulwadde bwa mukenenya n'abakubiriza okwekuuma okwekebeza kubanga Ssaabasajja yaakutte omumuli mu kulwanyisa siriimu.
Ggombolola Mutuba IV Kyebe, Mutuba XVII Nabigasa ne Mutuba X Kyamuliibwa okuva mu Buddu ze zikiise Embuga n'oluwalo lwa nsimbi ezisobye mu bukadde 12.