donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Abakulembeze ba Ssese CBS PEWOSA SACCO bafunye omusomo ku bwegasi

Abakulembeze ba Ssese CBS PEWOSA SACCO bafunye omusomo ku bwegasi
Image

Bamemba ba CBS PEWOSA, nga bamaze okufuna omusomo

Abakulembeze b'ekibiina kya Ssese CBS PEWOSA SACCO bafunye omusomo ku nzirunkanya y'ebibiina by'obweggasi n'okubiteekerateekera.

Omusomo guno gwategekeddwa Obwakabaka bwa Buganda ne Uganda Cooperative Alliance (UCA), era gwayindidde ku Dreamland Guest House e Kalangala okumala ennaku bbiri.

Abasomesa ku musomo guno kubaddeko Omw. Mulindwa Wamala, Omukwanaganya w'Obusuubuzi n'Obweggasi mu Bwakabaka, ne Mw. Ssempijja Richard okuva mu Uganda Cooperative Alliance (UCA).

Omusomo nga gugeenda mu maaso

Omusomo nga gugeenda mu maaso

Omusomo guno gwaggulwawo Omumyuka wa Kweba Omuky. Susan Namubiru, ba mmemba ku bboodi n'abaddukanya emirimu mu SACCO.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK