Olwa leero abakulembeze ba Nkobazambogo, n’Akaliba Akendo, abaggya balayidde, ku mukolo ogubadde mu bimuli bya Bulange.
Katikkiro y'abadde omugenyi omukulu era akuutidde abalayidde okukitegeera nti ebibiina bino bye bibangula abavubuka mu bukulembeze, n'okubafuula ab'obuvunaanyizibwa.
Abasabye okwemalira ku misomo gyabwe; bayige obuwangwa n’ennono, Oluganda n’okuba abajagujagu, nga bayiga ebiribagasa nga bakuze.
Omulangira David Kintu Wassajja, abasabye okukuuma obuntubulamu n'okulondoola obuwangwa bwabwe, ate n'okwagala ennyo Beene.
Oweek. Henry Sekabembe Kiberu, Minisita w'Abavubuka; Emizannyo n'Okwewummuza, yeebazizza amasomero agakkiriza Nkobazambogo, gy'agambye nti eyambye nnyo okunywereza abaana mu mpisa.

Abakulembezze abagya nga balayizibwa.
